Hebrews 7:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso ono atali wa lulyo lwabwe, yaggya ekyekkumi ku Yiburayimu, n'amuwa n'omukisa, Yiburayimu eyali asuubiziddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye oyo ataabalibwa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky’ekkumi okuva eri Ibulayimu, Merukizeddeeki n’asabira omukisa oyo eyalina ebyasuubizibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye oyo, atali wa mu kika kyabwe, yafuna ekimu eky'ekkumi okuva ku Ibulayimu n'amusabira omukisa ogw'oyo eyalina ebyasuubizibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Melikizeddeki si muzzukulu wa Leevi, kyokka yaggya ku Aburahamu ekitundu ekimu eky'ekkumi, era n'amuwa omukisa, sso nga Aburahamu ye yasuubizibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye oyo, atabalibwa mu kika kyabwe, yasolooza Ibulayimu n'asabira omukisa nnannyini byasuubizibwa.