Hebrews 7:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wano abafuna ekyekkumi be bantu abafa; naye wali, afuna aba akakasibwa ng'akyali mulamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu ngeri emu, ekimu eky’ekkumi kiweebwa eri abantu abafa, naye mu ngeri endala, kiweebwa eri oyo akakasibwa nga mulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu ngeri emu, abaweebwa ebitundu eby'ekkumi be bantu abafa, naye mu ngeri endala kiweebwa eri oyo ategeezebwa nga mulamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twogera ku bakabona, ekitundu ekimu eky'ekkumi kifunibwa abantu abafa. Naye ku Melikizeddeki, kifunibwa oyo akakasibwa Ebyawandiikibwa nti mulamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era mu ekyo abaweebwa ebitundu eby'ekkumi be bantu abafa; naye mu kiri abiweebwa ye oyo ategeezebwa nga mulamu.