Hebrews 8:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu bye tugambye, ekikulu kye kino, nti tulina kabona omukulu ow'engeri eyo, atudde ku ddyo wa nnamulondo y'Oweekitiibwa mu ggulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo ekikulu ekiri mu bye twogedde kye kino nti, Tulina Kabona Asinga Obukulu, atudde ku mukono ogwa ddyo, ogw’entebe ya Katonda ey’obwakabaka mu ggulu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale mu bigambo byetwogera kino kye kinyusi: tulina kabona asinga obukulu, afaanana bw'atyo, eyatuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ey'Obukulu obw'omu ggulu,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekigambo ekikulu mu bye twogedde kye kino: Ssaabakabona gwe tulina bw'atyo bwe yenkana, era atudde ku ludda olwa ddyo olw'entebe ey'obwakabaka eya Nnannyinibuyinza mu ggulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale mu bigambo bye twogedde kino kye kikolo: tulina kabona asinga obukulu, afaanana bw'atyo, eyatuula ku mukono ogwa ddyo ogw'entebe ey'Obukulu obw'omu ggulu,