Hebrews 8:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eno y'endagaano gye ndikola n'ennyumba ya Yisirayeli oluvannyuma lw'ennaku ezo, Omukama y'agamba: Amateeka gange ŋŋenda kugassa munda mu myoyo gyabwe, ngawandiike ku mitima gyabwe. Ndibeera Katonda waabwe, nabo balibeera bantu bange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Eno y’endagaano gye ndiragaana n’ennyumba ya Isirayiri, oluvannyuma lw’ennaku ezo, bw’ayogera Mukama. Ndissa amateeka gange mu birowoozo byabwe era ndiwandiika amateeka gange ku mitima gyabwe, nange nnaabeeranga Katonda waabwe, nabo banaabeeranga bantu bange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri Oluvannyuma lw'ennaku ezo. bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange mu birowoozo byabwe, Era ndigawandiika ku mutima gwabwe, Nange nnaabeeranga Katonda waabwe, Nabo banaabeeranga bantu bange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eno ye ndagaano gye ndikola n'Abayisirayeli ennaku ezo bwe zirituuka, bw'atyo Mukama bw'ayogera. Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe. Era ndigawandiika mu mitima gyabwe. Ndiba Katonda waabwe, nabo ne baba bantu bange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga eno ye ndagaano gye ndiragaana n'ennyumba ya Isiraeri Oluvannyuma lw'ennaku ziri, bw'ayogera Mukama; Nditeeka amateeka gange mu magezi gaabwe, Era ne ku mutima gwabwe ndigawandiika; Nange nnaabeeranga Katonda gye bali, Nabo banaabeeranga bantu gye ndi: