Hebrews 8:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Buli omu talyetaaga kuyigiriza munne, oba buli omu okugamba muganda we nti: ‘Manya Omukama,’ kubanga bagenda kummanya bonna, okuva ku asembayo obuto okutuuka kw'asinga obukulu,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era tewaliba nate muntu ayigiriza munne oba muliraanwa we, oba muganda we ng’agamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga okuva ku muto okutuuka ku mukulu bonna balimmanya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tewaliba muntu aliyigiriza munne, oba muganda we, ng'agamba nti, ‘Manya Mukama,’ Kubanga bonna balimmanya, Okuva ku muto okutuuka ku asinga obukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tewaliba ayigiriza munne, wadde ayigiriza muganda we nti: ‘Manya Mukama.’ Okuviira ddala ku muto okutuuka ku mukulu, bonna balimmanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
So buli muntu tebaliyigiriza munne, Na buli muntu muganda we, ng'ayogera nti Manya Mukama: Kubanga bonna balimmanya, Okuva ku muto okutuuka ku mukulu mu bo.