Hebrews 8:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bw'ayogera ku kiggya, aba adibizza ekyasooka. Ekiba kidibiziddwa nga kigenda kikaddiwa kiba kisigalidde kusaanawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda bw’ayogera ku ndagaano empya, olwo ng’andibizza ey’edda; n’eyo gy’adibizza n’okukaddiwa n’ekaddiwa, eriggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ayogera ku ndagaano empya, kiba kitegeeza nti eyolubereberye aba agiddibizza. Naye ekikulu era ekikaddiwa kiba kiri kumpi okuggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda bw'ayogera ku ndagaano empya, aba akaddiyizza eyo eyasooka. Naye ekyo ekikula ne kikaddiwa, kiba kiri kumpi okuggwaawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bw'ayogera nti Endagaano empya ey'olubereberye aba agikaddiyizza. Naye ekikulu era ekikaddiwa kiri kumpi n'okuggwaawo.