Hebrews 8:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
omuweereza mu Kitukuvu mu Weema eya nnamaddala, etassibwawo muntu buntu, wabula Omukama.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
omuweereza w’ebitukuvu, era ow’eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu ey’amazima, etaazimbibwa bantu wabula Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
omuweereza w'ebitukuvu, era ow'eweema ey'amazima, etaazimbibwa bantu, wabula Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aweereza nga Ssaabakabona mu Kifo Ekitukuvu era mu Weema yennyini etaateekebwawo muntu, wabula Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
omuweereza w'ebitukuvu, era ow'eweema ey'amazima, Mukama gye yasimba, si muntu.