Hebrews 8:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Manyanga buli kabona omukulu assibwawo kuweereza bitone na bitambiro; awo nno n'ono alina okubaako ky'aweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Kabona Asinga Obukulu yenna alondebwa olw’omulimu ogw’okuwaayo ebirabo ne ssaddaaka, bwe kityo n’oyo kyamugwanira okuba n’ekintu ky’awaayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa olw'omulimu ogw'okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka, kye kiva kimugwanira ne kabona ono okubaako n'ekintu ky'awaayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buli ssaabakabona ateekebwawo okuwaayo ebirabo n'ebitambiro eri Katonda. Ne Ssaabakabona waffe kyava agwanira okubaako ne ky'awaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli kabona asinga obukulu alondebwa olw'omulimu ogw'okuwangayo ebirabo era ne ssaddaaka: kyekiva kimugwanira n'oyo okubeera n'ekintu eky'okuwaayo.