Hebrews 8:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ate ddala aba kubeera ku nsi, teyandibadde kabona n'akamu, anti nga kuliko bakabona abaweereza ebitambiro ng'Etteeka bwe ligamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Singa yali ku nsi, teyandibadde kabona kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng’amateeka bwe galagira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n'akatono, nga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng'amateeka bwe gali;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n'akatono, kubanga waliwo bakabona abawaayo ebirabo ng'Amateeka bwe galagira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale singa yali ku nsi, teyandibadde kabona n'akatono, nga waliwo abawaayo ebirabo ng'amateeka bwe gali;