Hebrews 8:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso bo omulimu gwabwe guba gwa kufaanaanyiriza na kubeera bisiikirize eby'ebyo ebibeererawo ddala mu ggulu. Kubanga Musa bwe yali agenda okusimbawo Weema yalabulirwawo nti: “Wekkaanye, byonna obikolanga ng'ogoberera ekifaananyi ekikulagiddwa ku lusozi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kye bakola kifaananako bufaananyi era kisiikirize ky’ebyo ebikolebwa mu ggulu. Musa kyeyava alabulwa, bwe yali ng’anaatera okumaliriza weema, Mukama n’amugamba nti, “Bw’oba ng’ozimba, goberera entegeka yonna eyakulagirwa ku lusozi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
baweerereza mu kifaananyi na kisiikirize ky'ebyo eby'omu ggulu, nga Musa bwe yabuulirwa Katonda, bwe yali ng'agenda okukola eweema: kubanga Katonda yamugamba nti, “Laba ng'okola byonna nga bwe byakulagiddwa ku lusozi.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kye bakola kifaananako bufaananyi, era kisiikirize eky'ebyo ebikolebwa mu ggulu. Ne ku Musa bwe kyali. Bwe yali ng'agenda okukola eweema, Katonda yamulagira nti: “Byonna bikole ng'ogoberera ekyakulagibwa ku lusozi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abaweereza eby'ekifaananyi n'ekisiikirize eky'ebyo eby'omu ggulu, nga Musa bwe yabuulirwa Katonda, bwe yali ng'agenda okukola eweema: kubanga ayogera nti Tolemanga kukola byonna ng'ekyokulabirako bwe kiri kye walagibwa ku lusozi.