Hebrews 8:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye kati Kristu yafuna omulimu mu bukulu bwagwo ogusingira ddala egy'edda, anti endagaano gy'alimu ng'omutabaganya nnungi okusinga kubanga enyweredde ku bisuubizo ebikira obulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n’endagaano gy’alimu ng’omutabaganya y’esinga obulungi, n’ebisuubizo kw’enyweredde, bye bisinga obulungi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano bwe kiri, Yesu yaweebwa okuweereza okusinga obukulu, era n'endagaano gyalimu ng'omutabaganya y'esinga obulungi, kubanga era n'ebisuubizo byayo bye bisinga obulungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano omulimu Yesu gwe yaweebwa, gusinga nnyo ogwa bali obukulu, kubanga n'endagaano gy'alimu ng'omutabaganya, ye esinga obulungi, n'ebisuubizo kw'enyweredde, bye bisinga obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano aweereddwa okuweereza okusinga okuwooma, era nga bw'ali omubaka w'endagaano esinga obulungi, kubanga yalagaanyizibwa olw'ebyasuubizibwa ebisinga obulungi.