Hebrews 9:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula bidda ku mmere, ku byakunywa ne ku by'okunaaba okw'engeri ez'enjawulo, ebyalinga amateeka agadda ku mubiri obubiri okutuusa obudde obw'okutereeza ebintu obuggya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bikoma ku byakulya na byakunywa na ku bulombolombo obw’okunaaba, n’ebiragiro abantu bye baalina okukwata n’okugondera okutuusa ku biro eby’okuzza ebintu obuggya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo byakomanga ku ngulu, nga bifa ku kulya na kunywa na bulombolombo obw'okunaaba, okutuusa ku biro eby'okudda obuggya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Byakomanga ku bya kungulu, ebifa ku kulya ne ku kunywa ne ku bulombolombo obw'okwetukuza, ebyali eby'okubeerawo okutuusa ku kiseera eky'okuzza ebintu byonna obuggya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga ze mpisa ezaalagirwa ez'omubiri obubiri (era awamu n'ez'okulya n'ez'okunywa n'ez'okunaaba okutali kumu) ezaateekebwawo okutuusa ku biro eby'okudda obuggya.