Hebrews 9:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno ye mutabaganya ow'endagaano empya, abantu abaayitibwa basobole okufuna obusika obutaggwaawo obwasuubizibwa, anti waliwo eyafa abanunule mu bisobyo by'omu ndagaano eyasooka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, okufa bwe kwabaawo olw’okununulibwa okuva mu byonoono eby’omu ndagaano eyasooka, abo abaayitibwa ab’obusika obutaggwaawo balyoke baweebwe ekisuubizo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo Kristo ye kyava abeera omubaka w'endagaano empya, okufa bwe kwabeerawo olw'okununula mu byonoono eby'omu ndagaano eyolubereberye, abaayitibwa balyoke baweebwe okusuubiza kw'obusika obutaggwaawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo Kristo ye mutabaganya mu ndagaano empya, kubanga abo abaasuubizibwa ebirungi ebitaggwaawo, abasobozesa okubifuna. Ekyo kisoboka, kubanga yafa n'anunula abantu mu bibi byabwe bye baakola nga bakyafugibwa endagaano eyasooka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ye kyava abeera omubaka w'endagaano empya, okufa bwe kwabeerawo olw'okununula mu byonoono eby'omu ndagaano ey'olubereberye, abayitibwa balyoke baweebwe okusuubiza kw'obusika obutaggwaawo.