Hebrews 9:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awali ekiraamo, okufa kw'eyalaama kuteekwa kumala kukakasibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ekiraamo kiteekebwa mu nkola ng’eyakikola amaze kufa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga awaba endagaano ey'obusika, kigwana okubaawo okufa kw'oyo eyagikola.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiraamo kikakata ng'eyakiraama amaze kufa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga awaba endagaano ey'obusika, kigwana okubaawo okufa kw'oyo eyagiragaana.