Hebrews 9:19 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Musa bwe yamala okusomera abantu bonna buli kyalagirwa mu Tteeka, n'addira omusaayi gw'obuyana n'ogw'embuzi, n'akwata n'amazzi, ebyoya by'endiga ebimyule ne yissopo, n'amansa ku kitabo kyennyini ne ku bantu bonna
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Musa bwe yamala okuwa abantu bonna Amateeka, n’atwala omusaayi gwa zisseddume n’ogw’embuzi, n’amazzi, n’addira obutabi obw’akawoowo obwa ezobu, n’ebyoya by’endiga ebiriko omusaayi, n’amansira ku kitabo kyennyini era ne ku bantu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga buli kiragiro bwe kyamalanga okwogerwa Musa eri abantu bonna ng'amateeka bwe gali, n'atwalanga omusaayi gw'ennyana n'embuzi, wamu n'amazzi n'ebyoya by'endiga ebimyufu n'ezobu, n'amansiranga ku kitabo kyennyini, era ne ku bantu bonna,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Musa bwe yamala okutegeeza abantu ebiragiro byonna ebiri mu Mateeka, n'addira omusaayi gw'ennyana n'ogw'embuzi, wamu n'amazzi, n'ebyoya by'endiga ebimyufu, n'akati akayitibwa “Yisopu,” n'amansira ku kitabo ky'Amateeka ne ku bantu bonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga buli kiragiro bwe kyamalanga okwogerwa Musa eri abantu bonna ng'amateeka bwe gali, n'atwalanga omusaayi gw'ennyana n'embuzi, wamu n'amazzi n'ebyoya by'endiga ebimyufu n'ezoobu, n'amansiranga ku kitabo kyennyini, era ne ku bantu bonna,