Hebrews 9:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba nno ebyo ebifaananyi ebya biri eby'omu ggulu byali biteekwa okutukuzibwa mu ngeri eyo, eby'omu ggulu nno byali biteekwa okutukuzibwa n'ekitambiro ekikira bino obulungi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebifaananyi by’ebintu eby’omu ggulu kyebiva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu eby’omu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu kye biva byetaaga okutukuzibwa ne ssaddaaka, naye ebintu eby'omu ggulu byennyini biteekwa kutukuzibwa na ssaddaaka ezisinga ezo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu byasaanira okutukuzibwa bwe bityo. Naye eby'omu ggulu byennyini, byetaaga okutukuzibwa n'ebitambiro ebisinga obulungi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale ebifaananyi by'ebyo eby'omu ggulu kyabigwanira okunaazibwa n'ebyo, naye eby'omu ggulu byennyini okunaazibwa ne ssaddaaka ezisinga ezo.