Hebrews 9:26 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
singa bwe guli, yanditeekeddwa okubonaabona olutata okuviira ddala ensi lwe yabangibwawo. Naye kati yalabika omulundi gumu n'amala, kati ng'omulembe gunaatera okufundikira, alyoke aggyewo ekibi nga yeetambira yennyini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
kubanga kyali kimugwanira okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw’ensi. Naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y’omulembe, ne yeewaayo yennyini ng’ekiweebwayo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga kyandimugwanidde okubonaabonanga emirundi mingi okuva ku kutondebwa kw'ensi, naye kaakano yajja omulundi gumu ku nkomerero y'emirembe alyoke aggyewo ekibi olw'okwewaayo ye yennyini.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo Kristo yandibadde ateekwa okubonaabona emirundi mingi okuviira ddala ensi lwe yatondebwa. Naye kaakano yalabika omulundi gumu, mu mirembe gino egikomererayo, alyoke aggyewo ekibi, olw'okwewaayo yennyini.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga kyandimugwanidde okubonaabonanga emirundi emingi okuva ku kutondebwa kw'ensi: naye kaakano omulundi gumu ku nkomerero y'emirembe alabise okuggyawo ekibi olw'okwewaayo yennyini.