Hebrews 9:28 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne Kristu bw'atyo, ng'amaze okutambirwa olumu, yeetikka ebibi by'abangi; bw'alirabika ogwokubiri, teriba nsonga ya kibi, wabula okulokola abo abamulindiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era ne Kristo bw’atyo yaweebwayo omulundi gumu ne yeetikka ebibi by’abantu bonna. Alirabika nate omulundi ogwokubiri, si kuddamu kwetikka bibi byaffe, wabula okuleeta obulokozi eri abo abamulindirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era ne Kristo bw'atyo, bwe yamala okuweebwayo omulundi ogumu okwetikka ebibi by'abangi, alirabika omulundi ogwokubiri awatali kibi eri abo abamulindirira olw'obulokozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
era ne Kristo bw'atyo. Yaweebwayo omulundi gumu okwetikka ebibi by'abangi. Alijja omulundi ogwokubiri, nga tazze kuddamu kulwanyisa kibi, wabula okuyimbula abo abamulindirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era ne Kristo bw'atyo, bwe yamala okuweebwayo omulundi ogumu okwetikka ebibi by'abangi, alirabika omulundi ogw'okubiri awatali kibi eri abo abamulindirira, olw'obulokozi.