Hebrews 9:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Waaliyo Omwaliiro ogwa zaabu ogw'obubaani n'Essanduuku ey'Endaagaano, yonna nga mbikke zaabu ku njuyi zonna. Omwo mwalimu ekibya kya zaabu omwali manu n'omuggo gwa Aroni ogwayanya, ate n'empande z'Endagaano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ky’obubaane ekya zaabu, n’essanduuko ey’endagaano, eyabikkibwako zaabu ku buli ludda. Mu ssanduuko nga mulimu ekibya ekya zaabu ekyalimu emmaanu, n’omuggo gwa Alooni nga gutojjedde, n’ebipande eby’amayinja eby’Amateeka Ekkumi eby’endagaano.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mu kifo ekyo mwalimu ekyoterezo ekya zaabu, n'essanduuko ey'endagaano eyabikkibwako zaabu enjuyi zonna, eyalimu ekibya ekya zaabu omwali emmaanu, n'omuggo gwa Alooni ogwaloka, n'ebipande eby'endagaano;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu yo mwalimu ekyoterezo ky'obubaane, ekyakolebwa mu zaabu. Era mwalimu essanduuko ey'endagaano, ebikkiddwako zaabu enjuyi zonna. Mu ssanduuko eyo, mwalimu ekibya ekya zaabu, omwali mannu. Era mwalimu omuggo gwa Arooni ogwaloka, n'ebipande eby'amayinja okuwandiikiddwa ebiragiro bya Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
eyalimu ekyoterezo ekya zaabu; n'essanduuko ey'endagaano eyabikkibwako zaabu enjuyi zonna, eyalimu ekibya ekya zaabu omwali emaanu, n'omuggo gwa Alooni ogwaloka, n'ebipande eby'endagaano;