Hebrews 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebyo nga bimaze okutereezebwa bityo, bakabona bayingira bulijjo mu Weema esooka okukola emirimu gyabwe egy'okuweereza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebintu byonna nga bimaze okutegekebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga mu kisenge ekisooka buli lunaku ne bakola emirimu gyabwe egy’okuweereza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebyo bwe byakolebwa bwe bityo, bakabona bayingiranga buli lunaku mu kitundu kya weema ekisooka okutuukirizanga emirimu egy'okuweereza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo byonna nga bimaze okutereezebwa bwe bityo, bakabona baayingiranga bulijjo mu weema esookerwako, ne batuukiriza omulimu gwabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ebyo bwe byakolebwa bwe bityo, bakabona bayingira mu weema ey'olubereberye obutayosa, nga batuukiriza emirimu egy'okuweereza;