Hebrews 9:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mu Weema eyookubiri, kabona omukulu yekka y'ayingiramu, ate omulundi gumu mu mwaka, ate nga talemye kutwalirako musaayi gw'aweereza ku lulwe ne ku lw'abantu be olw'ebyo bye batanwamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Kabona Asinga Obukulu yekka ye yayingiranga mu kisenge eky’omunda omulundi gumu buli mwaka. Yagendangayo n’omusaayi, gwe yawangayo ku lulwe n’olw’ebibi by’abantu bye baakolanga mu butanwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
naye mu kiri eky'okubiri, kabona asinga obukulu yekka, yayingirangamu omulundi gumu buli mwaka, era yagendangayo n'omusaayi gwe yawangayo ku lulwe n'olw'ebibi by'abantu bye baakolanga mu butamanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu weema eyookubiri, mwayingirwangamu Ssaabakabona yekka, ng'ayingiramu omulundi gumu buli mwaka, era ng'ateekwa okutwalayo omusaayi gw'awaayo ku lulwe, ne ku lw'ebyonoono by'abantu bye bakola mu butamanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naye mu eri ey'okubiri ayingiramu kabona asinga obukulu yekka, omulundi gumu buli mwaka, si awatali musaayi, gw'awaayo ku lulwe ye n'olw'obutamanya bw'a bantu.