Hosea 1:10 — Compare Translations

4 translations compared side by side

Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Naye ekiseera kirituuka abantu ba Isirayiri ne baba bangi ng’omusenyu ogw’oku nnyanja, ogutayinzika kupimibwa newaakubadde okubalibwa olw’obungi bwagwo. Mu kifo ky’okuyitibwa abatali bantu bange, baliyitibwa, baana ba Katonda omulamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era naye omuwendo gw'abaana ba Isiraeri guliba ng'omusenyu ogw'ennyanja ogutayinzika kupimibwa newakubadde okubalibwa; kale olulituuka mu kifo, Katonda mwe yabaagambira nti, “Mmwe temuli bantu bange,” awo walibagambira nti, “Mmwe muli baana ba Katonda omulamu.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli baliba bangi ng'omusenyu ogw'ennyanja, ogutayinza kupimibwa, wadde okubalibwa. Kaakano Katonda abagamba nti: “Temuli bantu bange.” Naye olunaku lulituuka n'abagamba nti: “Muli baana ba Katonda Nnannyinibulamu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye omuwendo gw'abaana ba Isiraeri guliba ng'omusenyu ogw'ennyanja ogutayinzika kupimibwa newakubadde okubalibwa; kale olulituuka mu kifo mwe baagambirwa nti Mmwe temuli bantu bange, we baligambirwa nti Mmwe muli baana ba Katonda omulamu.