Hosea 1:11 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu ba Yuda baliddamu okwegatta n’abantu ba Isirayiri ne beerondamu omukulembeze, ne bava mu buwaŋŋanguse, era olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo abaana ba Yuda n'abaana ba Isiraeri balikuŋŋaanyizibwa, era balyerondera omukulembeze omu, era balitambula okuva mu nsi yaabwe, kubanga olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu ab'omu Buyudaaya n'ab'omu Yisirayeli balyegatta wamu, era balyerondera omukulembeze omu. Baliddamu okukulaakulana n'okuba obulungi mu nsi yaabwe, kubanga olunaku lwa Yezireeli luliba lukulu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo abaana ba Yuda n'abaana ba Isiraeri balikuŋŋaanyizibwa, era balyerondera omutwe gumu, ne bambuka okuva mu nsi: kubanga olunaku lwa Yezuleeri luliba lukulu.