Hosea 1:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama bwe yasooka okwogera ne Ozeya, yamugamba nti: “Genda, owase omukazi malaaya, azaale n'abaana mu bwamalaaya, kubanga ensi ekoze obwamalaaya bw'etebadde neesigwa eri Omukama.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Mukama bwe yasooka okwogera eri Koseya, yamulagira nti, “Ggenda owase omukazi malaaya, omuzaalemu abaana, era banaayitibwanga abaana aboobwamalaaya, kubanga ensi eyitirizza okukola ekibi eky’obwenzi, n’eva ku Mukama.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama bwe yatandika okwogera ng'ayita mu Koseya, Mukama yagamba Koseya nti, “Genda owase omukazi ow'obwenzi, ozaale n'abaana ab'obwenzi: kubanga ensi eyenda obwenzi obususse, ng'eva ku Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama bwe yatandika okwogera n'Abayisirayeli ng'ayita mu Hoseya, yagamba Hoseya nti: “Genda owase omukazi atali mwesigwa, omuzaalemu abaana, kubanga abantu bange banvuddeko, nze Mukama, tebakyali beesigwa.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama bwe yasooka okwogerera mu Koseya, Mukama n'agamba Koseya nti Genda owase omukazi ow'obwenzi n'abaana ab'obwenzi: kubanga ensi eyenda obwenzi obungi, ng'eva ku Mukama.