Hosea 1:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agenda n'awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n'aba olubuto n'amuzaalira omwana mulenzi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo n’awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu, n’aba olubuto, n’amuzaalira omwana wabulenzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Koseya n'agenda n'awasa omukazi ayitibwa Gomeri muwala wa Dibulayimu; Gomeri n'aba olubuto n'amuzaalira omwana wa bulenzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Hoseya n'agenda, n'awasa omukazi ayitibwa Gomeri, muwala wa Dibulayimu. Gomeri n'aba olubuto, n'azaalira Hoseya omwana ow'obulenzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'agenda n'awasa Gomeri muwala wa Dibulayimu; n'aba olubuto n'amuzaalira omwana wa bulenzi.