Hosea 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Gomeri yaddamu n'aba olubuto, n'azaala omwana muwala; Omukama n'agamba Ozeya nti: “Mutuume erinnya lye Lo-Rukama kubanga sikyaddayo kusaasira nnyumba ya Yisirayeli, mbu mbaddiremu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Gomeri n’aba olubuto olulala, n’azaala omwana wabuwala. Mukama n’agamba Koseya nti, “Mmutuume erinnya Lolukama, kubanga ennyumba ya Isirayiri ndiba sikyagyagala, si kulwa nga mbasonyiwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Gomeri n'aba olubuto olwokubiri n'azaala omwana wa buwala. Awo Mukama n'amugamba nti, “Mutuume erinnya lye Lolukama; kubanga sikyakwatirwa kisa nnyumba ya Isiraeri, wadde okubasonyiwa n'akatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gomeri era n'aba olubuto, n'azaala omwana wa buwala, Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya ‘Takwatirwakisa’, kubanga Abayisirayeli sikyabakwatirwa kisa, wadde okubasonyiwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'aba olubuto nate n'azaala omwana wa buwala. Awo Mukama n'amugamba nti Mutuume erinnya lye Lolukama: kubanga sikyakwatirwa kisa ennyumba ya Isiraeri, mbasonyiwe n'akatono.