Hosea 1:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ndiraga ekisa ennyumba ya Yuda; ndibalokola, naye si na musaale, oba na kitala, oba na lutalo, oba na mbalaasi yadde beebagazi, wabula na Mukama Katonda waabwe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ab’ennyumba ya Yuda ndibaagala, era ndibalokola, si na kasaale, newaakubadde ekitala, newaakubadde entalo, newaakubadde embalaasi newaakubadde abeebagala embalaasi, wabula nze kennyini Mukama Katonda waabwe nze ndibaagala era ne mbalokola.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Yuda, era nze Mukama Katonda waabwe, ndibalokola ne mbawonnya; so siribalokola na mutego, newakubadde ekitala, newakubadde olutalo, newakubadde embalaasi newakubadde abazeebagadde.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ndikwatirwa ekisa ab'omu Buyudaaya. Nze Mukama Katonda waabwe, ndibawonya akabi, naye nga tewali kukozesa mutego gwa busaale na kitala, wadde embalaasi n'abazeebagadde; tewaliba lutalo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ndikwatirwa ekisa ennyumba ya Yuda, era ndibalokola ne Mukama Katonda waabwe, so siribalokola na mutego newakubadde ekitala newakubadde olutalo newakubadde embalaasi newakubadde abazeebagadde.