Hosea 1:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama n'amugamba nti: “Mutuume erinnya lye Lo-Ammi, kubanga mmwe temuli bantu bange, nange mundaba ng'atali wammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama n’ayogera nti, “Mmutuume erinnya Lowami, kubanga temukyali bantu bange, nange sikyali Katonda wammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama n'agamba Koseya nti, “ Mutuume erinnya Lowami; kubanga mmwe temuli bantu bange, nange siri Katonda wammwe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama n'agamba Hoseya nti: “Mutuume erinnya ‘Sibantubange’, kubanga mmwe temuli bantu bange, nange siri Katonda wammwe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama n'ayogera nti Mumutuume erinnya Lowami: kubanga mmwe temuli bantu bange, nange siriba Katonda wammwe.