Hosea 10:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yisirayeli yali muzabbibu oguggumizza, nga gubala ebibala byagwo; ebibala bye gye byakomya okweyongera, gye yakomya okuzimba emyaliiro; ensi gye yakomya obugagga, naye gye yakomya okuyonja empagi za balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Isirayiri yali muzabbibu ogwagaagadde, ogwabala ebibala byagwo. Ebibala bye gye byeyongera obungi, naye gye yeeyongera okuzimba ebyoto; n’ensi ye gye yeeyongera okuba engagga, gye yeeyongera okulungiya empagi ze.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri muzabbibu ogubala ennyo, ng'ebibala bye bwe byeyongeranga obungi, bw'atyo naye gyeyakoma okuzimba ebyoto bye; ng'ensi ye bwe yeeyongera okuba ennungi, n'empagi ze gyezeyongera okuba ennungi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli bali ng'omuzabbibu ogubala ennyo. Gye baakoma okweyongera obungi, gye baakoma n'okuzimba zaalutaari. Ensi yaabwe gye yakoma okweyongera okuba ennungi, gye baakoma n'okulungiya empagi ez'amayinja ze basinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri muzabbibu ogwera, oguleeta ebibala byagwo: ng'ebibala bye bwe byali ebingi, bw'atyo bw'ayongedde ebyoto bye; ng'ensi ye bwe yeeyongera okuba ennungi, empagi ze baakola bwe zaabanga ennungi bwe zityo.