Hosea 10:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Efurayimu, nnyana ntendeke, eyagala okuwuula; nzija kumwambaza ekikoligo mu nsigo ye ennungi. Efurayimu nzija kumwambaza amatandiiko, Yuda ajja kukabala, Yakobo akube amavuunike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Efulayimu nnyana ntendeke eyagala okuwuula; kyendiva nteeka ekikoligo mu nsingo ye ennungi. Ndigoba Efulayimu ne Yuda ateekwa okulima ne Yakobo ateekwa okukabala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu nte nduusi eyigirizibbwa obulungi, eyagala okusamba eŋŋaano; era nditaliza ensingo ye ennungi, naye nditeeka Efulayimu ku kikoligo, Yuda alikabala ne Yakobo alikuba amavuunike.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Yisirayeli edda yali ng'ente ennyana eyigiriziddwa obulungi, eyagala okusamba eŋŋaano. Naye nasalawo okumuteeka ekikoligo mu bulago bwe obulungi, mmukozese emirimu egy'amaanyi. Ab'omu Buyudaaya balikabala, ab'omu Yisirayeli balikuba amavuunike.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Efulayimu nte nduusi eyigirizibwa, eyagala okusamba eŋŋaano; naye nninnye mu bulago bwe obulungi. Nditeeka ku Efulayimu alimwebagala; Yuda alirima; Yakobo alikuba amavuunike.