Hosea 10:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mwesigire obutuukirivu, mukungule ebibala eby'ekisa n'okwagala; mukabale ebisambu byammwe, kubanga obw'okunoonya Omukama butuuse, okutuusa Omukama lw'anajja abatonnyeseze obutuufu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Musige ensigo ez’obutuukirivu, mukungule ebibala eby’okwagala okutaggwaawo; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, kubanga ekiseera kituuse okunoonya Mukama, okutuusa lw’alidda n’abafukako obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mwesigire obutuukirivu, mukungule okwagala okwannamaddala; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime kubanga obudde butuuse okunoonya Mukama, okutuusa lw'alijja n'abatonnyesezaako obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nagamba nti: ‘Mukabale ettaka lyammwe eritali ddime, musige obutuukirivu, mukungule emikisa eginaava mu kunjagala. Kino kye kiseera mmwe okudda gye ndi nze Mukama. Nja kujja mbayiweko emikisa eginaabalokola.’
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mwesigire mu butuukirivu, mukungule ng'okusaasira bwe kuli; mukabale ettaka lyammwe eritali ddime: kubanga obudde butuuse okunoonya Mukama, okutuusa lw'alijja n'abatonnyesaako obutuukirivu.