Hosea 10:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye mmwe mwasiga bugwenyufu, mukungudde bwonoonefu, mulidde ebibala eby'obulimba, kubanga mwesiga ebigaali byammwe n'obungi bw'abatabaazi bammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mwasimba obutali butuukirivu ne mukungula ebibi, era mulidde ebibala eby’obulimba. Olw’okwesiga amaanyi go, n’abalwanyi bo abangi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulimye obubi, mukungudde obutali butuukirivu; mulidde ebibala eby'obulimba kubanga weesiganga amagaali go, n'abasajja bo abalwanyi ab'amaanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye musize ekibi ne mukungula ebibala byakyo. Mulidde ebibala eby'obulimba bwammwe, kubanga mwesiga amagaali gammwe, n'abatabaazi bammwe abangi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulimye obubi, mukungudde obutali butuukirivu; mulidde ebibala eby'obulimba: kubanga weesiganga ekkubo lyo, olufulube lw'abasajja bo ab'amaanyi.