Hosea 10:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno akatabanguko k'olutalo kajja kusitukira abantu bo, n'ebigo byo byonna bya kuzikiriza nga Salumani bwe yazikiriza Beti-Arubeli ku lunaku olw'olutalo, bannyina b'abaana lwe baaseseggulwa ku ttaka n'abaana baabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
olutalo kyeluliva lubawuumira mu matu, n’ebigo byammwe byonna ne bizikirizibwa, nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw’olutalo, abakyala ba nnakazadde lwe baggundwa ku ttaka n’abaana baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo oluyoogaano olw'olutalo lulisituka mu bantu bo, n'ebigo byo byonna birizikirizibwa nga Sulemaani bwe yazikiriza Beswaluberi ku lunaku olw'olutalo, era nnyaabwe lwe yatandaggirwa wamu n'abaana be.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo olutalo lulisasamaza abantu bammwe, era ebigo byammwe byonna birizikirizibwa. Kiriba nga bwe kyali, Kabaka Salumaani bwe yazikiriza ekibuga Betirarubeeli mu lutalo, abakazi ne battibwa wamu n'abaana baabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okusasamala kyekuliva kubeera mu bantu bo, n'ebigo byo byonna birinyagibwa, nga Sulumaani bwe yanyaga Beswaluberi ku lunaku olw'olutalo: nnyaabwe yatandaggirwa wamu n'abaana be.