Hosea 10:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naawe Beteli bwe kirikutuukirira, kubanga obugwenyufu bwo buyitirivu; ku mmambya kabaka wa Yisirayeli alisaanyizibwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe kityo bwe kiribeera, ggwe Besweri kubanga ekibi kyo kinene nnyo. Olunaku olwo bwe lulituuka, kabaka wa Isirayiri alizikiririzibwa ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'ekityo bwe kirikukolebwa, ayi ennyumba ya Isiraeri, olw'okwonoonakwo okunene. Mu mayengo kabaka wa Isiraeri alisalirwako ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe kityo bwe kiriba ne ku mmwe abantu b'e Beteli, olw'ebibi byammwe ebyenkanidde awo obungi. Olutalo luliba lwakatandika, kabaka wa Yisirayeli alisaanyizibwawo.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era bw'atyo Beseri bw'alibakola olw'obubi bwammwe obwenkanidde awo: emmambya bw'eriba ng'esala, kabaka wa Isiraeri alizikirizibwa ddala.