Hosea 10:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwabwe mulimba, kati balina okubonerezebwa olw'omusango gwabwe; Omukama alimenyawo emyaliiro gyabwe, alizikiriza empagi za balubaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwabwe mulimba, era ekiseera kituuse omusango gubasinge. Mukama alimenya ebyoto byabwe, era alizikiriza empagi zaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwabwe mulimba, kaakano balina okwettika omusango gwe. Katonda ajja kumenyawo ebyoto byabwe, era azikirize n'empagi zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emitima gyabwe tegitereera ku kimu. Kale kaakano bajja kubonaabona olw'ebibi byabwe. Katonda ajja kumenyawo zaalutaari zaabwe, era azikirize n'empagi ez'amayinja ze basinza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwabwe gwawukanyeemu; kaakano banaalabika omusango nga gubasinze: alikuba ebyoto byabwe, alinyaga empagi zaabwe.