Hosea 10:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Boogera bwogezi, balayirira bwereere, bakola ndagaano; emisango kwe kwanya ng'omuddo ogw'obutwa mu mpangi y'ennimiro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Basuubiza bingi, ne balayirira obwereere nga bakola endagaano; emisango kyegiva givaayo ng’omuddo ogw’obutwa mu nnimiro ennime.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Boogera bigambo bugambo, nga balayira eby'obulimba baalagaana endagaano; ensala y'emisango eyonoonese, n'eba ng'omuddo ogw'obutwa, ogumera ku mbibiro z'ennimiro.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Boogera bigambo bugambo, ne balayira eby'obulimba mu kukola endagaano. Ensala y'emisango eyonoonese, n'eba ng'omuddo ogw'obutwa, ogumera ku mbibiro z'ennimiro.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Boogera ebigambo obugambo, nga balayira eby'obulimba mu kulagaana endagaano: omusango kyeguva gumerera mu mbibiro z'ennimiro ng'omususa.