Hosea 10:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ab'e Samariya baliba mu kutya olw'akayana k'e Beti-Aveni; bwe kalibaggyibwako, abantu baayo balikakaabira, wamu ne bakabona baako abakasinza, abajaguliza mu kitiibwa kyako,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abatuuze b’e Samaliya bali mu ntiisa olw’ennyana ensaanuuse ey’e Besaveni. Abantu baayo baligikungubagira, ne bakabona baayo abaweereza bakatonda abalala, abaasanyukanga olw’ekitiibwa kyayo baligikungubagira, kubanga ekitiibwa kyayo kigivuddeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abali mu Samaliya bakankana olw'ennyana ey'e Besaveni. Abantu baakyo baligikungubagira, ne bakabona baakyo abasinza ebifaananyi baligiwuubaalira, olw'ekitiibwa kyayo ekigivuddeko.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'e Samariya balitya, era balikungubaga olw'okuviibwako ennyana eya zaabu ey'e Betaveni. Bo awamu ne bakabona abagisinza, baligikaabira. Baliwuubaala bw'eriggyibwako ekitiibwa kyayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abali mu Samaliya entiisa eribakwata olw'ennyana ez'e Besaveni: kubanga abantu baakyo balikiwuubaalira, ne bakabona baakyo abaakisanyukira, baliwuubaalira ekitiibwa kyakyo, kubanga kikivuddeko.