Hosea 10:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kalitwalibwa mu Assuri ng'ekirabo kya kabaka omukulu; Efurayimu aliswala, ne Yisirayeli alisonyiwala olw'ebigendererwa bye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Erisutulibwa n’etwalibwa e Bwasuli n’eweebwa kabaka omukulu ng’ekirabo. Efulayimu aliswazibwa ne Isirayiri alikwatibwa ensonyi olw’ekiteeso kye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Yee, ekintu ekyo kiritwalibwa e Bwasuli, ng'ekirabo kya kabaka omukulu. Efulayimu aliswazibwa, ne Isiraeri alikwatibwa ensonyi olw'ekifaananyi kye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nayo eritwalibwa mu Assiriya, okuba ekirabo kya kabaka omukulu. Abayisirayeli balikwatibwa ensonyi ne baswala, olw'amagezi ge baagoberera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nakyo kiritwalibwa e Bwasuli okuba ekirabo kya kabaka Yalebu: Efulayimu aliweebwa ensonyi, ne Isiraeri alikwatirwa ensonyi okuteesa kwe ye.