Hosea 10:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Okuva mu nnaku za Gibewa, Yisirayeli, okola bibi, era eyo gye wasigala. Olutalo ku baana b'obugwenyufu terulibakwatira mu Gibewa?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Okuva mu nnaku za Gibea, wayonoona, ggwe Isirayiri era eyo gye wagugubira. Entalo tezakwatira abakozi b’ebibi mu Gibea?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okuva mu nnaku za Gibeya, wayonoona, ayi Isiraeri, eyo gye beyongerera. Olutalo terulibakwatira e Gibeya?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abayisirayeli tebalekangayo kukola bibi, okuviira ddala mu kiseera kye baakoleramu ebibi e Gibeya. Kale olutalo lulibakwatira e Gibeya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Isiraeri, wayonoonanga okuva ku nnaku ez'e Gibeya: baayimirira eyo; olutalo lwe balwana n'abaana ab'obujeemu luleme okubatuukirako mu Gibeya.