Hosea 11:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Yisirayeli ng'akyali mwana, namwagalanga, nayita mutabani wange okuva mu Misiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Isirayiri bwe yali omwana omuto, namwagala, era namuyita okuva mu Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Isiraeri bwe yali omwana omuto, n'amwagala, era okuva mu Misiri n'ayita mutabani wange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Yisirayeli bwe yali ng'akyali mwana muto, namwagala, ne mmuyita okuva e Misiri, nga mwana wange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Isiraeri bwe yali omwana omuto, namwagala, ne mpita omwana wange okuva mu Misiri.