Hosea 11:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Baligoberera Omukama, aliwuluguma ng'empologoma; bw'aliwuluguma, abaana balijja bakankana okuva ebugwanjuba;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Baligoberera Mukama; era aliwuluguma ng’empologoma. Bw’aliwuluguma, abaana be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balitambula okugoberera Mukama, era aliwuluguma ng'empologoma; ye, aliwuluguma, era batabani be balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abantu bange balingoberera nze Mukama, bwe ndiwuluguma ng'empologoma. Balyanguwa okujja gye ndi, nga bava ebugwanjuba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balitambula okugoberera Mukama, naye aliwuluguma ng'empologoma: kubanga aliwuluguma, n'abaana abato balijja nga bakankana okuva ebugwanjuba.