Hosea 11:12 — Compare Translations
4 translations compared side by side
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Efulayimu aneebunguluzza obulimba, n’ennyumba ya Isirayiri eneebunguluzza obukuusa, ne Yuda ajeemedde Katonda, ajeemedde omwesigwa Omutukuvu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu anneetooloozezza obulimba, n'ennyumba ya Isiraeri enneetooloozezza obukuusa, naye Yuda akyamanyiddwa Katonda, era akyali mwesigwa eri Omutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Abayisirayeli banneetooloozezza obulimba n'obukuusa. Naye abantu b'omu Buyudaaya nkyabamanyi nze Katonda, era beesigwa gye ndi nze Omutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu anneetooloozezza obulimba, n'ennyumba ya Isiraeri enneetooloozezza obukuusa: naye Yuda akyafuga awali Katonda, era mwesigwa awali Omutukuvu.