Hosea 11:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye gye nakomya okubakoowoola, gye baakomya okunneesamba; baatambiriranga Baali, ne banyookeza ebifaananyi bya balubaale obubaani.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye buli lwe nayongeranga okuyita Isirayiri, nabo gye beeyongeranga okusemberayo ne bawaayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza ebifaananyi ebyole obubaane.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gye nakoma okubayita, bwe batyo n'abo gye bakoma okunvaako; baasigala baawaayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye gye nakoma okubayita, gye baakoma okunvaako. Baawaayo ebitambiro eri Baali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga bwe beeyongera okubayita, bwe batyo bwe beeyongera okubavaako: baawangayo ssaddaaka eri Babaali, ne bootereza obubaane ebifaananyi ebyole.