Hosea 11:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nze nayigiriza Efurayimu okutambula, nga mmukutte ku mukono, naye tebaamanya nti nze nabawonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nze nayigiriza Efulayimu okutambula, nga mbakwata ku mukono; naye tebategeera nga nze nabawonya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
So nga yali nze eyayigiriza Efulayimu okutambula; nabawambaatira mu mikono gyange, naye tebaamanya nga nze n'abawonya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sso nga nze nayigiriza Yisirayeli okutambula. Nabawambaatira mu mikono gyange, naye tebaategeera nga nze nabalabirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era naye nayigiriza Efulayimu okutambula; nabawambaatira mu mikono gyange; naye tebaamanya nga nze nabawonya.