Hosea 11:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nabasikiranga ku miguwa gy'okusaasira okw'obuntu, n'enkoba ez'okwagala; ku bo nali ng'oli ayambula ekikoligo mu nsingo yaabwe, ne nkutama gye bali ne mbaliisa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nabakulembera n’emiguwa egy’okusaasira okw’obuntu, n’ebisiba eby’okwagala. Naggya ekikoligo mu bulago bwabwe ne neetoowaza ne mbaliisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nabawalula n'emigwa egy'okusaasira, n'ebisiba eby'okwagala, era nabafuukira ng'oyo ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, n'akutama ne mbaliisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nabasika n'ekisa era n'okwagala bajje gye ndi. Nabasitula ne mbawambaatira ng'awambaatira omwana omuto, nakutama ne mbaliisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nabawalula n'emigwa egy'omuntu, n'ebisiba eby'okwagala; era nabanga gye bali ng'abo ababaggyako ekikoligo ekiri ku mba zaabwe, ne nteeka emmere mu maaso gaabwe.