Hosea 11:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Abantu bange bamaliridde okunjabulira. Ne bwe balikoowoolera awamu Ali Waggulu Ddala, talibasitula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu bange bamaliridde okunvaako. Ne bwe banaakoowoola oyo Ali Waggulu Ennyo, taabagulumize.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu bange bamaliridde okudda emabega okunvaako; beewaddeyo eri ekikoligo, era tewali alikibaggyako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bange bamaliridde okunvaako. Balikaaba olw'ekikoligo ekibaliko, naye tewaliba akibaggyako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era abantu bange bamaliridde okudda ennyuma okunvaako: newakubadde nga babayita okudda eri oyo ali waggulu, tewali n'omu akkiriza okumugulumiza.