Hosea 11:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ndikwabulira ntya, ggwe Efurayimu? Ndikuwaayo ntya, Yisirayeli? Nkuyisa ntya nga Aduma? Nkufuula ntya nga Zeboyimu? Omutima gwange gunfuukuuse munda, n'okusaasira kwange kubuguumiridde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nnyinza ntya okukuleka ggwe Efulayimu? Nnyinza ntya okukuwaayo ggwe Isirayiri? Nnyinza ntya okukufuula nga Aduma? Nnyinza ntya okukukola nga Zeboyimu? Omutima gwange gwekyusiza munda yange, Mpulira nkukwatiddwa ekisa kingi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaakuvaamu ntya, ayi Efulayimu! Nnaakuwaayo ntya, ayi Isiraeri! Nnaakufuula ntya nga Aduma! Nnaakuyisa ntya Zeboyimu! Omutima gwange gunyikaala munda yange, okusaasira kwange kwa bbugumu ate kwa gonjebwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nnaakuwaayo ntya Yisirayeli? Nnaakwabulira ntya? Nnaakuzikiriza ntya nga bwe nazikiriza Aduma, wadde okukuyisa nga bwe nayisa Zeboyiimu? Omutima gwange teguŋŋanya kukikola, kubanga mpulira nkwagala nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naakuwaayo ntya, Efulayimu? naakugabula ntya, Isiraeri? naakufuula ntya nga Aduma? naakussaawo ntya nga Zeboyimu? omutima gwange gukyuse munda yange, okusaasira kwange kwakidde wamu.