Hosea 11:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sijja kuta busungu bwange obwesera, sijja kukyuka nzikirize Efurayimu, kubanga nze ndi Katonda, siri muntu, Omutuukirivu mu makkati go. Sijja kujjira mu busungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Siikole ng’obusungu bwange obungi bwe buli, so siridda kuzikiriza Efulayimu; kubanga siri muntu wabula ndi Katonda, Omutukuvu wakati mu mmwe: sirijja na busungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sirituukiriza busungu bwange obukambwe, siriddayo kuzikiriza Efulayimu; kubanga ndi Katonda so siri muntu; nze Omutukuvu ndi wakati wo, sirijja ku kuzikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Sirikubonereza nga nsunguwadde. Siriddayo kuzikiriza Yisirayeli, kubanga ndi Katonda sso si muntu. Nze Omutuukirivu ndi wamu naawe. Sirijja gy'oli nga nsunguwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sirituukiriza busungu bwange obukambwe, siridda kuzikiriza Efulayimu: kubanga nze Katonda so siri muntu; Omutukuvu ali wakati wo: so siriyingira mu kibuga.