Hosea 12:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Efurayimu anneetoolozza obulimba, n'ennyumba ya Yisirayeli obukuusa. Naye ye Yuda akyamayiddwa Katonda, mwesigwa eri Omutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Efulayimu alya mpewo; agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna, era bongera ku bulimba ne ku ttemu. Bakola endagaano n’Obwasuli, n’aweereza n’amafuta e Misiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Efulayimu agoba mpewo, era olunaku lwonna agoberera empewo ez'ebuvanjuba; tata kwogera bya bulimba na bya bukambwe, era balagaana endagaano n'Obwasuli, ne batwala n'amafuta mu Misiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Abayisirayeli bagoba mpewo olunaku lwonna, bawondera mbuyaga y'ebuvanjuba. Beeyongera kukola bya bulimba na bya bukambwe. Bakola endagaano ne Assiriya, era batwala omuzigo mu Misiri.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Efulayimu alya mpewo, era agoberera empewo ez'ebuvanjuba: tata kwongera bya bulimba na kuziika; era balagaana endagaano n'Obwasuli, n'amafuta gatwalibwa mu Misiri.