Hosea 12:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Nze Mukama Katonda wo okuva lwe wali mu nsi y'e Misiri; nzija kuddamu okukusuza mu weema nga ku lw'Ensisinkano.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nayogera eri bannabbi, ne mbawa okwolesebwa kungi, ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'ayogeranga ne bannabbi, era nze nnaayongeranga okwolesebwa gyebali, era ne mbagereranga engero nga mpita mu bannabbi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Nayogeranga n'abalanzi, era ne mbongera okulabikirwa, era ne ndabula abantu bange, nga mpita mu balanzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era nayogeranga ne bannabbi, era nnyongedde okwolesebwa; era nagereranga engero mu mukono gwa bannabbi.